Luganda news

Eddy Kenzo akomyewo e Uganda. -Fremer media

Omuyimbi Edirisa Musuuza abasinga gwebamanyi enyo nga Eddy Kenzo kyadaki amaze nakomawo e Uganda oluvanyuma lwemyeezi enna bukyanga egwanga libeera kumugalo olwekirwadde ki covid-19 ekisse abantu okwetolola ensi yona.

Eddy Kenzo nga ono yalikulugendo lweyaliko mugwanga lya Ivory Coast nga eno yalinayo okukuba ekivulu yalemesebwa okudda okukakana nga egwanga liyingidde omugalo.

Mu gwanga lya Ivory Coast jabadde, Eddy Kenzo ayise mumbeera emunyize enyo nga muno mubaddeko nobutafuna meere jeyali yamanyiira, esente okumugwaako olwebintu okubeera ebyobuseere nga kuno kwosa nokulwaala nga kijukirwa nga enaku zomwezi 21/March, Eddy Kenzo yagwaamu obulwadde bwa ulcers.

Eddy Kenzo yegase kubana Uganda abawerako ababadde basoberwa ekka nemukibira olwegwanga okubeera kumugalo era nga kati minisitule ekola kunsonga zebweeru ebadde ekola butaweera mubanga eriyise okusobola okuuza bana Uganda okwabobwe

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

4 × four =

Most Popular

To Top