Luganda news

Harry Kazibwe atadde oluyimba lwatumye Tubukebere.

Omuyimbi wenyimba zekika ekya bandi Harry Kazibwe ate nga yeyakuba oluyimba olwanyumira abangi olwa Kyanoga nate afulumizayo oluyimba olupya nga luno alutumye Tubukebere.

Harry Kazibwe nga tanafulumya Tubukebere yasoka kufulumya luyimba lwa “Wardrobe‘ wabula nga luno yagaanwqa okulukolera video awamu nokulutambuza oluvanyuma lwokufuna okuwabulwa nti enyimba ye akoze kikyamu okujikyuusa era nga wano agamba nti bamugamba nti yali ayawudde mubawagizi be ekintu naye kyeyatunulamu neyekuba mumutima.

Olwaleero akedde kufulumya luyimba lwa Tubukebere nga luno aluyimbye naye nga lukoona abasajja awamu nokukuma mubakyaala omuliro okukebera amasimu gabasajja babwe.

Harry kazibwe akyaali mu management ye eya Dennie management era nga noluyimba lwa Tubukebere mwalufulumiza. Tubukebere luyimba yalufulumiriza mu situdiyo ya Baur.

Also Read: Harry Kazibwe adukiridde abaana abatalina buyambi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

1 × two =

Most Popular

To Top