Entertainment

Harry Kazibwe adukiridde abaana abatalina buyambi.

Harry Kazibwe

Omuyimbi omu kubakyasinze okutekawo ebugumu mu kuyimba wano mu Uganda Harry Kazibwe, avuddeyo nadukirira abaana abatalina buyambi nadala abo abafirwaako abazadde babwe.

Harry Kazibwe okukola kino kidiridde akatambi akalagibwa jebuvuddeko kumutimbagano gwa ABS- Tv nga kalaga abaana bano nga tebalina meere jebalya wadde okufuna obuyambi, bwatyo abadukiridde nebintu ebyenjawulo okuli Engoye, engato, bulanjiti, emere kwosa nebintu ebikozesebwa mubulamu.

Harry kazibwe

Bwetwayogedeko naye, Harry Kazibwe yatutegezeza nti bweyalaba akatambi kano yakunga abawagizi be kwosa ne manegimenti ye nebamukwatirako asobole okukyuusa embeera abaana bano jebayitamu.

Harry kazibwe

Bweyabuzidwa kunsonga lwaki asirise nnyo oluvanyuma lwokufulumya oluyimba lwa Kyanoga, Harry Kazibwe yategezeza nti alinayo byafumbira abawagizi bbe era nga saawa Yona ajakuba abibanjulira.

Download kyanoga by Harry kazibwe here:

https://mobile.howwebiz.ug/song/31638/kyanoga/4777/harry-kazibwe

Harry Kazibwe yayatikirira nnyo bweyayimba akayimba kebayita Kyanoga nga kano kamugulirawo enzijji munsiike yokukuba emiziki, wetwogerera ali mu manegimenti ya Dénnie Management.

Also Read: Meet Harry Kazibwe who is giving Uganda artists sleepless nights. -Fremer Media

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

one + 10 =

Most Popular

To Top