news

Abayimbi 40 bafulumiza oluyimba Mzee Tute tukole.

Oluvanyuma lwakabanga akawerera ddala emyeezi 7 nga abayimbi kwosa nabategesi bebivulu bayimirizibwa olwobulwadde bwa Çovid 19, abayimbi abawerera ddala 40 begase nebafulumya oluyimba olusaba gavumenti ebate baddemu okukakalabya ejabwe ejokuyimba.

Nga begatide wamu nekibiina ekya Uganda Musician associated, abayimbi bagumbye ku situdiyo y’omulangira Ssuuna jebakoledde oluyimba luno nga basubira nti oba oli awo gavumenti enekuba mumutima nebaleka nebaddamu okuyimba.

Mubayimbi ababaddeyo kuliko Kabako, Os Suuna, Annet Nandujja, Harry Kazibwe, John Blaq, Princess Amirah, Vj Jingo, Taata Sam, Amooti Omubalanguzi, Ssuuna Ben, Mbazira Tonny, Haruna Mubiru, Fred Sebatta, Gerald Kiweewa, Moses Matovu, Grace Khan, Abdu Mulasi, Brown Shuga kwosa nabayimbi be Uganda abalala banji.­

 

Mzee Tute tukole oluyimba luno olwafulumye lwogera kumbeera abayimbi jebaze bayitamu mukaseera Kano akekirwadde Kya Covid-19.

Wabula okusinzira kubatunulirizi bensonga balaga nti kino kyandiba ekizibu olwembera eriwo eyebyobufuzi wano mu Uganda nga bagamba nti abayimbi bano bandikozesa akawenda Kano okukubira Muyimbi munabwe Bobi Wine kampeyini zobwa Pulezidenti.

Also Read: Rema Namakula inspired me to join music – Harry Kazibwe.

Listen to Mzee Tute tukole here:

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

twelve + 6 =

To Top