Luganda news

Polisi ya Uganda yalumbye offisi za NUP netwala ebintu byaffe -Bobi Wine

Polisi ya Uganda yalumbye offisi zekibiina kyebyobukulembeze ekya National Unity Platform (NUP) ezisangibwa e Kamokya netwala ebintu ebyenjawulo.

Mubyatwalibwa mwabademu enkofira za people power, t-shirts za people power nga kwosa nokutwala ebiwandiiko ebyenjawulo ebyabadde ku offisi za NUP.

Omukulembeze wekibiina kino Robert Kyagulanyi Sentamu yategezeza nga Polisi bweyatute empapula okwabadde emikono jabantu obukadde musavu nga buno bwabade bukunganyizidwa okweyimirira Bobi Wine okusobola okwesimbawo mukifo kyobwa Pulezidenti wa Uganda.

Bobi Wine yayongede nategeza nti esente zekibiina ezabadde zikunganyizidwa okuyambako kubabadde bagenda okuwandisibwa okuvuganya kubwa babaka bolukiiko olukulu olwegwanga nga zino zabadde ziwerera ddala obukadde obwensimbi 23.

 

Wabula omwogezi wa Polisi ya Uganda omukulu Enanga yategezeza nti polisi basazeko ekitebe Kya NUP nekigedererwa kyokujaayo ebyambalo byebagambye nti byamajje nga bino bibadde bikozesebwa aba NUP.

  1. Also Read: Bobi Wine Lina Zedriga the Vice President of NUP Persuades Evelyn Anite to Join Nup
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

thirteen + 19 =

Most Popular

To Top