Luganda news

Bobi Wine awereza obubaka obujewo entalo mu people power.

Omubaka mu lukiiko olukulu olwegwanga ate era nga munakisinde Kya people power Hon. Kyagulanyi Sentamu Robert abasinga gwebamanyi ga Bobi Wine avudeyo navumirira ebikolwa ebibadde bitandise okwawula yawulamu bana kisinde Kya people power.

Nga ayita mububaka bwatadde kumukutu gumugata bantu ogwa Facebook, Bobi Wine atangaziza kunsonga ezenjawulo nga muno mwatwalidde obumulu mulu obubadde buli mubanakisinde kino.

Nga wakayita enaku 11 bukyanga eyali mukwano gwe Ashburg Katto ayabulira ekisinde kino nadda mu NRM, abantu abenjawulo bavudengayo nga berangira okulya sente za kabwejumbira Museven.

Bobi Wine awalirizibwa okutegeza banakisinde Kya people power nti tewali Muntu sekinomu Alina kusongebwamu lugalo nga alangirwa okulya sente za Museven.

Obubaka buno webutuse kubana kisinde kino bubasanyusiza era abasinga bakira obwedda nabo bawanikayo obubaka buno ekibuletedde okutambula enyo era nebuwa banakisinde Kya people power esuubi.

Obubaka bwa Bobi wine bubuno

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

11 − 5 =

Most Popular

To Top