Luganda news

Nze sikyali wa NRM – Bucherman.

Omuyimbi ate nga yetwala okubera president wa Ghetto omukulu Buchaman avuddeyo neyegaana okubeera munakibiina Kya NRM ekiri mubuyinza.

Buchaman agamba nti ye tasobola kubera mu NRM erimu abasajja nga Balam bagamba nti tebesigika era okusinzira kuye agamba nti ono atekebwa kubera mukozi we.

Bweyabadde ayogerako nemunamawulire womukutu gwa tv emu, Buchaman yategezeza nti akyaali muwabuzi wa Pulezidenti Museven era nangamba nti amuwabula kubintu ebyenjawulo nga muno mulimu nebyokugaba akawunga mu ghetto.

Buchaman yalondebwa kubwa president wa Ghetto nekyokuba omuwabuzi wa Pulezidenti kunsonga zomu Ghetto mu October womwaaka oguwedde.

Bwebamubuziza kunsonga ze ne Bobi Wine, yategezeza nti Bobi Wine wadembe okwesimbawo kubwa president era nagamba nti Bobi Wine gwamanyi asobola okukulembera abantu wadde nga ye agamba nti Bobi Wine wenaku zino takyamutegera mbu ye asiiba mumasuuti.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

seventeen − fifteen =

Most Popular

To Top