news

2020-21 Premier League Etandika nga 12 Og’wo Mwenda

Akakiko akatekateka liigi ya Bungereza Katudde ne kasalawo Sizoni ejja eya premier league etandike nga 12 Og’wo mwenda 2020, ate ekomekerezebwe nga ku naku z’omwezi 23 Og’wo kutaano 2021.

Liverpool yawangude liigi ya sizoni eno,era nga kigitwalidde emyaka 30 okudamu okuwangula liigi ya Bungereza.Bali basembayo okukiwangula wansi wobutendesi bwa Sir Kenny Dalglish enzalwa ya Scotland mu sizoni ya 1989-1990.

kino kye kikoopo kya Liverpool ekisoose okuva liigi ya Bungereza lwe yakyusibwa erinnya ne tumibwa “Premier League” mu sizoni ya 1992/93.Era kino  kikoopo kya liigi kya kkumi na mwenda(19) nga Manchester United yekyasize okuwangula liigi ya Bungereza, emirundi amakkumi abiri(20).

Liverpool yaffuse tiimu ey’o musanvu okuwangula premier league okuva we yakyusibwa erinnya netumibwa “Premier League” mu 1992/92 ngera yegase ku Arsenal, Manchester United, Chelsea, Leicester City, Manchester City ne Blackburn Rovers.

2020-21 Premier League ye sizoni eya amakkumi Abiri mu mwenda (29) okuva liigi ya Bungereza lweyakyusibwa erinnya mu 1992/93

356 Soldiers Resign From The Nigerian ArmyBryan White was Poisoned, Results from South Africa

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

18 + 19 =

Most Popular

To Top