Entertainment

Nze nafuyira Sophie Gombya emindi nalekulira – Full figure

Eyali omuyimbi noluvanyuma neyegatta mubyobufuzi omukyala Jennifer Fullfigure avudeyo nayatula nga bweyafuyira Sophie Gombya emindi eyamuviriddeko okulekulira.

Fullfigure okwogera bino kidiridde abadde Pulezidenti wekibiina ekigata abayimbi mugwanga ekya “Uganda Musicians Association’  omukyala Sophie Gombya okuvayo nalekulira kuntebe yobwa Pulezidenti bwa “UMA’ kunsonga zeyalambise.

Okusinziira ku baluwa yokusulawo omulimu guno, Sophie Gombya yategezeza nga bweyabadde Alina ekigendererwa ekyokwesimbawo kubwa Lord Council mu  Kampala nga ate ebyobufuzi bibeera bikontana nensiike yebyokuyimba.

Yye Fullfigure yategezeza nga bulijjo bwafuyirira akagalo okufuba okulabanga Sophie ava muntebe jabadde era bweyabadde ayogerako nemunamawulire womukutu gwa Fremer Media, Full figure yategezeza nti emindi ajinyweredae akabanganga ayagala Sophie Gombya omulimu guno aguveeko.

Okulekulira kwa Sophie Gombya kwoleka lwatu nga omuyimbi Ykee Benda bwalina okumudira mubigere olwensonga nti yabadde amumyuuka

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

sixteen + seventeen =

Most Popular

To Top