NRM nali njibamu sente nze ndi wa People power- Bad Black.
Shanitah Namuyimbwa abasinga gwebakazaako erya Bad Black avuddeyo neyegaana okubeera munakibiina Kya NRM ekiri mubuyinza. Okusinzira ku bad black agamba nti ye tawagirangako ku NRM mubulamu bwe era nategeza nti ye yali abalayo sente.
Emabegako awo mwana muwala bad black yavayo nga yemulugunya olwa minisitule yebyobulamu okugaana okumusasula sente ze zeyakolerera oluvanyuma lwokukuba akalango akaali kakugira ba nekolera gyange oba bayite ba Malaaya obutesembereza bavuzi babimotooka ekintu ekiyinza okubaviraako okufuna obulwadde bwa Covid-19.
Wabula Minisitule yebyobulamu bweyamwegaana, Bad Black yateeka ekifananyi kye nga ayambadde enkofiira ya People power, oluvanyuma Balam yamuyita ku offisi ze ezisangibwa e Ntinda namuwa sente.
Wadde nga Bad Black yali asabye millions bitaano, twafuna okutegerezebwa nti baali bamuwadde million taano (5) zokka wadde nga ye mukusooka yategeza nga bwebaali bamuwadde sente ze kubujuvu.
Bweyabadde akuza amazalibwa ge agemyaaka 31, Bad Black yategezeza nti ye muntu wa People power ekisinde ekikulirwa omubaka we Kyadondo eyobuvanjuba Omukulu Robert Kyagulanyi Sentamu abasinga gwebayitanga Bobi Wine
Shanita Namuyimbwa oba muyite badย Black mububaka bweyatadde kumukutu gwe ogwa Facebook oguli mumanya ga Chanitah Ptt: “Itโs ok this s peace mY right to support nali nina okuwana National Resistance Movement – NRM to be paid now i got something da real me wa People Power – Uganda ๐๐ Ofcouse they paid but not 500m still i was happy with anything they gave me kasita sazituyanira
Mbwa mwe munesoyiwe ๐๐ discloser agreement ๐๐๐๐๐nice evening”