Entertainment

Mbereju eyali omukozi woku Lediyo kati muzimbi.

Eyali omukozi woku radio Simba Kasozi Fred abasinga gwebaali bamanyi nga Mbereju Figa Yakibe embeera yamusajukako bwatyo nawalirizibwa okuva mukyokukola ku radio nadda mukukola ogwobuzimbi.

Mbereju ajukirwa nnyo mubiseera weyakolerako ku radio simba esangibwa e Bukoto nga yakolanga mu pulogulamu yokumacha eya Bisangaawano nga muno yakolanga n’Omulangira Ndawusi, Andrew Benon Kibuuka kwosa ne Charles James Senkubuge.

Oluvanyuma lwakabbanga nga akola mu pulogulamu eno, eyali akola kuntekateka za pulogulamu ku radio eyo amanyikibwa ennyo nga Lord Mandev yamujja mu pulogulamu bwatyo nadda yokumacha bbwatyo namusa mu pulogulamu yoku Sunday nga eno yali ya Kadongo Kamu.

Mberejju mweyo pulogulamu yajikoleramu akabanga akawera era oluvanyuma lwemyaaka 2 nga akola pulogulamu eno ne Salongo Sewakiryanga. Mu 2015 wajjawo ddiiru ya lediyo empya eyali eyatandika mu Kayunga emanyikibwa ennyo nga Sauti fm nga eno ekulirwa Kalangwa Kaliisa omugaga era bwatyo kigambibwa nti lediyo ya Kalangwa yamupasulayo ku Simba bwatyo natandika okukolera e Kayunga wabula neno teyamalayo kabanga kanene nga kigambibwa nti eyali manager wa lediyo eno yamugamba nti yali aweddemu nga byakoola tebikyanyuma.

Mu 2019, waliwo lediyo eyatandiika endala emanyikibwa nga Success fm nga eno yakolebwa kyanja yamuyita nemuwa omulimu era bwatyo yatandika okukola mu pulogulamu yokumacha wabula nayo teyamalayo kabanga kanene okukakana nga nayo avudeyo.

Kiteberezebwa okubanga omukulu ono ensi bweyamukwatako yasalawo kuyingira mulimu gwa buzimbi  era nga kati gwakakalabya okusobola okufuna ekyokulya.

Mbereju ajukirwa ennyo mukuzanya emizanyo omwaali nga nemizanyo ejenjawulo jeyazanyanga nendiga.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

three × one =

Most Popular

To Top