Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti era Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ayuugumizza Kawaala bw’agenze okwetaba mu kuziika Pasita Yiga Augustine Abizaayo agenda okuziikibwa akawungeezi ka leero ku kkanisa ye e Kawaala.
Bobi atuuse e Kawaala wakati mu byokwerinda nga Poliisi ne LDU bakola kyonna ekisoboka okulambika abantu.
Kanyama Eddie Mutwe yabadde akulembeddemu ebyokwerinda bya Bobi Wine era asobodde okulemesa Poliisi okusemberera mukama we wakati mu kulaga amaanyi g’emmere.
Read also : Diamond Platnumz Manager wins Parliament Elections in Tanzania