Luganda news

Bobi Wine ayongedde okwolesa amanyi kumutimbagano.

Omuyimbi nga kati yafuuka munabyabufuzi, Robert Kyagulanyi Sentamu abasinga gwebayita Bobi Wine natte azemu okwolesa amanyi kumutimbagano bweyazemu okutegeka ekivulu kye ekyokubiri bukyanga obulwadde bwa Covid-19 buzinda ensi.

Abasinga bakira balabye ekivulu kino nga bebuuza essa Bobi Wine kwatuuse munsiike yokukuba emiziki, obutafananako nga ekivulu kye ekyasoka kyeyategeka mumaaka gge agasangibwa e Magere, Bobi wine kuluno show ye yajitute ku beach ye esangibwa ebusabala emanyidwa nga One Love Beach.

Bobi wine yasose kukuba bawagizi be muziki nga ali ku lyaato eryakabenje nga kuno lwabadeko abakubi bebivuga abenjawulo okwabadde Aziz Azion nga ono yabadde asuna jitta, Saxxs nga ono yeyabadde kumulele nabalala, era nga wano yabadde ne Muyimbi munne Nubian Li.

Oluvanyuma yatuuse kulukalu nga bavudde mumaazzi wabula ekyakubye ababadde balaba enkyukwe, nti yatuse endongo teyayimiridemu olwokuba nti omukulu awamu nababadde batese tese nti babadde betegese nnyo era wano yasudemu abawagizi be akàyimba ka Kigwa Leero awo ate endongo nekwajja buto.

Bweyatuse kukayimba ka Specioza eyamukyawa, Kyagulanyi oba muyite Bobi Wine yayongeddemu ebirungo oluvanyuma lwokutekamu abamu kwabo ejaali mikwano je wabula nga kati kati bamweyawulako olwokuba yayingira ebyobufuzi. Mubano yayimbye ku Full figure, Bash, Kayihura, Muhoozi kwosa ne Museven.

Obutafananako nomulundi ogwasoka bweyayimba akàyimba ka Basudde aka Bus Dunia, Bobi Wine kuluno yayimbye kayimba komugenzi Paul Job kafeero era abasinga bamulabye weyakyamuse ennyo natuuka nokwesiba esaati mukiwato nalyoka atandika okubibya.

Bobi Wine yamaliriza ekivulu nakayimba ka Kasukaali keeko era wano mikwano je ejenjawulo bavudeyo nebamwegatako okwabadde ne Mutabani we Solomon Kampala, Patricko Mujuuka, King Saha, Dr Hilderman, selector Davie, Tonny hoozi, nabalala banji.

Bwekyatuse ku namba yababadeko nga balaba, Bobi Wine yayongedde okwoleesa amaanyi bweyakuumye omuwendo gwabantu ababadde balaba nga kuluno benkanye nkanye nabaliiko omulundi ogwasoka.

Bobi wine yavudeyo neyebaza banne bwebabadde nga batekateka ekivulu kino mububaka bwe bweyatadde kumutimbagano gwe ogwa Facebook. Era nga nabantu abenjawulo nabo bamuyozayozeza olwessa lyatuuseko munsiike yokukuba emiziki mu Uganda.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

5 + eleven =

Most Popular

To Top