Luganda news

Bobi Wine atadewo likodi yekivulu ekikyasinze okulabibwa ku mutimbagano

Mubanabyabufuzi nga mubaka mu lukiiko olukulu olwegwanga  owe Kyadondo eyobuvanjuba ate nga muyimbi Robert Kyagulanyi Sentamu era nga amanyikibwa nga Bobi Wine yategesewo ekivulu kyeyatumye Ensasage munyumba nga kino yakikoledde buterevu mumakka ge agasangibwa e Magere.

Bobi Wine nga aliwamu nemuyimbi munne Bukin Ali nga ono amanyikibwa nga Nubian Li batandise okuccamula abawagizi babwe nga bayita kumitimbagano okwabadde ”Facebook’ Twitter awamu ne YouTube.

Wadde nga ababiri bano baali baganibwa okudamu okukola ekivulu kyona e Uganda okuva Bobi Wine weyayingira ebyobufuzi, kiteberezebwa nti abawagizi babwe babadde babalinako enyonta bwebwatyo mungeri yokubamalako enaku ya kalantini, basazewo babakubemu omuziki nga bayita kumitimbagano jimugata Bantu.

Bano batandise ekivulu kino kusaawa saatu era nga kyatwalidde ddala akabanga ka saawa ssatu nambirira nga wano omuwendo gwabantu gwayitiridde kumikutu jona ababadde Bali mukulaba.

Amaka ga bobi wine bakira gabadde gayakayakana gona olwamatala agenjawulo agabadde gaaka awamu nendongo eyolukoba kulukoba oba jiyite “Live music’.

Bobi wine yebaziza abawagizi be ababaddeko nga balaba nga ayita mububaka bweyatadde kumukutu gwe ogwa Facebook. 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

17 − ten =

Most Popular

To Top