Luganda news

World Bank eragidde Uganda okujawo omusolo gwa OTT.

Bank yensi yonna (world bank) evuddeyo nessa gavumenti yakuno eya Uganda kuninga nga ejiragira okujjawo omusoolo ogwatebwa kumikutu jimugata bantu okuli ogwa Facebook, Whatsapp, Twitter, kwosa ne Instagram.

World bank yategezeza nti omusolo ogwatekebwa kumikutu jjino singa guba gujidwawo gwandiyambako mukukendeza okusasanya kwekirwadde Kya Covid-19, nga bagamba nti abantu banji babeera bafuna obubaka nga bayita kumikutu jjino.

World Bank era yayongedde netegeza nti omusolo guno gukalubiriza abantu banji olwensonga nti babeera tebasobola kwejako sente shs.200 ezandibayambye mukaseera Kano akazibu nga emirimu ejenjawulo jayimirizibwa olwekirwadde ki Covid-19.

World Bank era yategezeza nti gavumenti kyeyasubira okufuna mumusoolo guno tekyasobola tukirira olwensonga nti baali basubiira okufuuna billions 284 wabula nga bawunzika bafunye billions 49.5 ekintu ekyongera okwoleka nti abantu banji tebagwetanira.

Era bank Eno yategezeza nti omusolo gwa OTT abasinga bagusalira amagezi nga banji batandika okukozesa applications ezigwewala okugeza VPN (Virtual Private Network) nga eno esobola bulunji nnyo okugwewala.

Bayongende okutegeza nti egwanga engeri jeryagala okugenda mukulonda kwa sayansi nti emikutu jino jetagibwa nyo okukozesebwa. Era nga bagamba nti ne zi kampani ezenjawulo ezemeere kwosa nezitunda ebintu ebyenjawulo nga ziyitira ku mitimbagano ziyamba kyamanyi nnyo okukeendeza kunsasana yekirwadde Covid-19.

Gavumenti ya Uganda yasawo omusolo gwa OTT mumwaaka gwa 2018 nga 1, Ogwomusanvu, era nga mumbalirira yomwaaka ogwo gavumenti yakugaanya sente nyinji nyo wabula zize zikendera olwensonga abantu banji babadde batandise okugwebalama nga nabandi bavva dda kumitimbagano gino.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

five × 4 =

Most Popular

To Top