Sports

Ttimu ya Liverpool Fc ewangudde ekikoopo kya Premier League ekisokedde ddala.

Oluvanyuma lwa kabanga akawerera ddala emyaka 30 bukyanga ekikoopo kya Premier League kitandikibwa okuyitibwa bwekityo, club ya Liverpool ebadde tekiwangula ngako okutuuka sizoni eno bwewangulidde ekikoopo kyaayo ekisokedde ddala mubyafayo.

Okuwangula ekikopo kino kidiridde ttimu ya Manchester City okukubwa kubugenyi bwebabaddeko kukisaawe Kya Stamford Bridge ekya Chelsea nga guno omupiira guwedde nga banyinimu aba Chelsea babala ggolo 2:1, era nga kino mubutongole kiwadde Liverpool Fc okufuna ekikoopo.

Liverpool Fc emenye likodi endala eyokubanga ye ttimu esokedde ddala okuwangula ekikopo kino nga ekyabuzaayo emipiira ejiwera musanvu (7).

Omutendesi wa Liverpool Fc omukulu Jurgen Klopp afuuse omukuba tendesi abawanguzi nga kinajukirwa nti bukyanga yegata ku ttimu eno eya Liverpool asobodde okujiwangulira ebikopo ebyenjawulo okuli Champions League, UEFA Super Cup, Fifa Club World Cup nga Kati kwogata ne Premier League.

Sizoni ewedde yatuusa club eno okumalira mukyokubiri nga erina obubonero 97 era nawo nemenya likodi endala eyokubanga nti emalidde mukyokubiri nobubonero obwawagulu.

Klopp ategezeza nti musanyufu okubanga essawa eno asobodde okutukiriza ekirooto kye ekyokuwangula ekikopo Kya premier League era nategeze nti kyekimu kubintu byabadde tasubira.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

3 × two =

Most Popular

To Top