Speaker Kadaga alagidde ba MP okubakebera Covid-19.

Speaker wa palament Owek. Alitwala Kadaga asinzidde mu lutuula lwa palament nategeeza nga ababaka bona webagenda okukeberwa ekirwadde ki Covid-19.
Bukyanga ntuula za palament ziberawo ababaka babaddenga tebakeberebwangako kirwadde ki Covid-19 ekintu Kadaga kyanokoddeyo nti kyanditeeka ababaka bano mukatyaabaga.
Kadaga era agamba nti ababaka bano batambuddennyo mubitundu ebyenjawulo nga kino kisobola okubaviirako okufuuna endwadde eno eya Covid-19 noluvanyuma nebagisiiga ababaka abalala ekintu ekiyinza okukosa egwanga.
Supiika Kadaga mulutuula lwa parliament oluyise, yategezeza nti oba omugalo gwandijidwawo abantu nebabatendeka engeri yokuyiga okweyisaamu mumbeera eyekirwadde ki Covid-19.
Speaker Kadaga era nga asinzira mu parliament, yayise minister webyobulamu Dr. Ruth Acheng okuvaayo alabikeeko eri parliament yenyonyoleko olwokumenya ebiragiro ebyatekebwawo okutangira ekirwadde ki Covid-19 nga Ono sabiti eyise yakuba rally mubitundu bye Lira.
