Luganda news

Owa police eyabye esimu police emuwoleleza

Waliwo owa p‎olice eyabye esimu kumukyaala eyabadde kukitebe Kya FDC nga Ono bamukubye ekigwo okukakana nga asude esimu wansi era mukavuvungano ako esimu ye olwamusimatuse negwa, Ono owa police najiba.

Wadde nga tanategerekeka manya, owa police eyabye esimu ekitongole Kya police kivudeyo nekimuwolereza nti tanabako kusiimu yono omukyaala wadde nga akatambi kakiraga lwaatu nti owa police eyabye esimu yajironzewo naduka.

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police SP Patrick Onyango avuddeyo ku katambi akatambula ku ‘social media’ abantu abamu mwebagambira nti omusirikale owa Police yabye esimu.

Poliisi egamba nti nga 27/7/2020 Poliisi yasindika abasajja baayo ku bitebe by’ebibiina ebivuganya Gavumenti omwali Forum for Democratic Change – FDC olw’okuba nti byali enteekateeka ez’enjawulo okubawa eby’okwerinda nti era Najjanankumbi yalimu.
Nti Poliisi bweyali ewaayo eby’okwerinda ku FDC abamu ku bawagizi bwa FDC abaali baagala okuva ku kitebe nga bakoze oluseregende bazibe oluguudo lw’e Entebe.

Poliisi yategeezevwa nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yali anatera okuyita ku luguudo luno nga adda Entebe nga tebasobola kukiriza bantu kuggala luguudo.

Abawagizi ba FDC bajja nga baagala kuyingira ekitebe nebasabibwa balindeko Pulezidenti amale okuyitawo balyoke bayingire kuba tewaliwo akirizibwa kuyingira oba kufuluma wabula nebalemerako ekyawaliriza Poliisi okukozesa amaanyi agasaanidde era omukyala omu naggwa wansi bweyasituka nagezaako okulwanagana n’omusirikale.

Mu Katambi kano omusirikale owa Police eyabye esimu alabibwa nga alonda ekintu ekiddugavu okuva wansi. Poliisi egamba nti kyeyalonda gali mayinja (Police epaulette/flap – rank holder) so ssi ssimu. Poliisi egamba nti gaagwa bweyali agezaako okutereeza embeera.

Wabula Ono owa police eyabye esimu yomukyaala olwamaze okujiba kwekwebuzabuza nasalamu ekubo nga bwayimiriza ezabadde zisala okukakana nga esimu yomukyaala akulise nayo.

Guno sigwemulundi ogusose nga police erabikira mubumenyi bwamateeka, omwezi oguwedde waliwo owa police eyabye esimu okuva kumuvubuka era nga ono yamutabukira nga ajimusaba.

Video Credit: NTV Uganda

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

two × 3 =

Most Popular

To Top