Ebyafaayo

Omulangira Kitayimbwa Mumiransanafu Eyakweka Ssekabaka Muteesa Afudde

OMULANGIRA MUMIRANSANAFU Y’ANI?:

(1)Sebastian Kitayimbwa Mumiransanafu Ssaalongo yazaalibwa mu 1935, afiiridde ku myaka 85. (2)Asibuka mu luse lw’abalangira b’e Kkooki abavaamu Kaamuswaga. (3)Gavana Cohen bwe yawanngangusa Ssekabaka Muteesa mu 1953, Mumiransanafu y’omu ku baaduumira bayizi banne e Makerere okwegugunga ne boonoona ebintu, bw’atyo n’agobwa mu Yunivaasite era emisomo we yagikomya.

(4)Mu 1954 Obwakabaka bwa Buganda bwamuwa omulimu nga omubazi w’ebitabo mu ggombolola ya Ssaabagabo Makindye era omutaputa wa kkooti. (5)Ssekabaka Muteesa bw’akomawo mu 1955, n’alonda Mumiransanafu nga omubazi w’ebitabo mu minisitule ya y’ebyamateeka. (6)Mu 1960 y’amulonda ku buweereza mu ssaza ly’e Buyaga kati eryabula.

(7)Mu 1960, Ssekabaka Muteesa yasiima n’alonda Mumiransanafu okuba Muteesa, ow’essaza Mawogola. (8)Mu 1966 nga Obote alumbye Obuganda, Mumiransanafu yakweka Ssekabaka Muteesa e Mawogola okumala ennaku 21, era n’ayamba okumutolosa okumuyingiza Burundi, gye yava okugenda e Bungereza.

(9)Mumiransanafu yalimba omukadde Nzereena Nabakooza nti yali aleese muganda we Kaamuswaga wa Kkooki okumumukwekera, nga Nabakooza yategeera luvannyuma nti yali akwese Kabaka.

(10)Omulangira Mumiransanafu n’omumbejja Geera Mosha baali bakuza ba Kaamuswaga Apollo Ssansa Kabumbuli era abaamulunngamyanga bulijjo okunywerera wansi wa Ssaabasajja Kabaka. (11)Gye buvuddeko Kabaka Mutebi yasiima n’awa Kitayimbwa Mumiransanafu emmotoka nga amusiima olw’okuweereza Buganda. Wummula mirembe Omulangira Kitayimbwa Mumiransanafu.

Read also:Speaker Rebecca Kadaga declares war on Jacob Oulanyah even before 2021 elections

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

four + nineteen =

Most Popular

To Top