news

NUP erangiridde olunaku lwabagala okujja kubwa Pulezidenti lwebalina okufunirako empapula

Ekibiina kyabyobukulembeze ekitadde ebugumu mubyobufuzi bye Uganda ekya NUP oba kiyite National Unity Platform kivudeyo nekirangirira olunaku abagala okuvuganya kubwa Pulezidenti nga bayita ku card yekibiina kino.

Mukwogerako nebanamawulire, Joel Senyonyi nga ono yemwogezi wekisinde Kya people power awamu nekibiina kyebyobufuzi ki NUP ategezeza nti abagala okwesimbawo balina okunona empapula kukitebe Kyekibiina kino e Kamokya okutandika nolwokutaano lwa wiiki Eno.

Robert Kyagulanyi Sentamu nga Ono yesowolayo dda okuvuganya kuntebe yobwa Pulezidenti avudeyo nategeeza nti ye mwetegefu okwenganga buli muntu anabeera yesowoddeyo okuvuganya kukamyuufu kekiibina kino era nategeza nti ye mwetegefu okuwangula.

Wadde nga ekibiina kino kifanana okubera nga kyafuuna anakikwatira bendera mukuvuganya kubwa Pulezidenti nga Ono yemubaka omukiisi we Kyadondo eyobuvanjuba Robert Kyagulanyi Sentamu, omwogezi wekibiina ki NUP Joel Senyonyi yategezeza nti bagala kwolesa kyebayita dimokulasiya mukibiina kyabwe era yensonga lwaki balina okugenda mukamyuufu kekiibina kino

Also Read: Top secret on why Bobi Wine joined National Unity Platform

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

3 + thirteen =

Most Popular

To Top