news

Mary Bata alayidde okufiira ku Bobi Wine kubwa president.

mary bata

Eyaliko omuyimbi mukibiina kya Cream production omukyaala Namakula Mary abasinga gwebamanyi nga Mary Bata avudeyo nategenze nga bwagenda okuwagira munakisinde kya people power ate nga ye pulezidenti wekibiina kyebyobufuzi ekya National Unity Platform omukulu Robert Kyagulanyi Sentamu abasinga gwebakazako erya Bobi Wine.

Okusinzira ku Mary Bata yategezeza nti Bobi Wine alina omutima gwokulumirirwa abantu era nategeza nti wakumuwagira mukalulu kobwa pulezidenti akayindayinda saawa yona.

Mary Bata yayongede nategeza nga ayitira kumukutu gwe ogwa Facebook nti Bobi Wine yamuyambako okufuuka kyaali kati nga ayita mukumuwagira mungeri eyenjawulo. Yategezeza nti Bobi Wine yamuyambako okumuyimbirako kukivulu kye ekyasokera ddala ekyaali ekya concert ye eya ‘Disappointment’ nga akyaali muwala muto era nategeza nti Bobi Wine wano teyamujako wadde nekikumi.

A People Power without Bobi Wine must be exciting

Mary Bata era yategezeza nti wadde nga ekibiina kyeyalimu ebiseera ebyo sente tebazimuwa, yategezeza nt obusente obutono bweyafuna mu Bobi Wine bwamuyambako okukola bizinensi ye eyasokera ddala eya saloon jeyakola e Mukono.

David Lutaalo's Former Manager Signs Mary Bata and Rydim Galz - HowweBiz.UG

Era bwatyo yategezeza nti ye muwagizi wa Bobi Wine nyo era nasaba gwekiba kirumye anune kuvu.

Mary Bata Reportedly Fires Manager Over Flopped Show. - HowweBiz.UG

Also Read:Bobi Wine set to Reconcile with Eddy Kenzo

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

8 − 5 =

Most Popular

To Top