Jose Chameleon asisinkaganye Salim Saleh kubyemotoka ye jebatwaala.
Omuyimbi we Uganda Joseph Mayanja abasinga gwebamanyi enyo nga Jose Chameleon okusinzira kugetufuna galaga nti yasisinkaganye muganda wa Pulezidenti Museven omukulu Salim Saleh kunsonga zokumutaasa emotoka ye ereme kutwalibwa.
Emotoka ya Jose Chameleon Eno ekika kya Toyota Land Cruiser V8 499P nga eno Jose Chameleon yamuwebwa omukyaala muna business awangalira mugwanga lye South Africa nga amanyikibwa nga Achai Wiir nga eno yajimuwa nga ekirabo kyokumuyimbira ku mbaga ye.
Wabula Jose Chameleon mukuleeta emotoka Eno okujija e South Africa kitegerezebwa nti teyajiyisa mumikono mituufu era nga teyasasula misoolo ja URA. Kino kyaviirako okutwala emotoka ye era nagulibwako omusango mukooti erwanyiisa obulyaake ne nguzi.
Kino kyaviriddeko Jose Chameleon okugenda nasisinkana Gen. Salim Saleh amutaase kunsonga zemotoka nga era kiteberezebwa okuba nga mutabani wa Salim Saleh gweyayitamu okutuuka ewa genero ono.
Bino bijidde mukasera nga Jose Chameleon yetegekera okwesimbawo mukifo kyobwa Mayor wekibuga Kampala nga wabula buli omu yebuuza oba nga anegata kumuyimbi munne Robert Kyagulanyi Sentamu mukibiina kye ekya National_Unity_Platform
Also Read: BOBI WINE WRITES TO KABAKA ASKING FOR SUPPORT IN 2021 PRESIDENTIAL ELECTIONS
Brig. Flavia Byekwaso omukazi asoose okukulira ekitongole ekyogerera UPDF