Entertainment

Entalo ezenjawulo ezaviraako okwawukana kwa Bobi Wine, Chameleone ne Bebe Cool – Fremer Media

Abantu abasinga bebuuza ensonga eyaviraako entalo ezitagwanga ezaalinga wakati wabayimbi ba Uganda abanene mumyaaka ja 2000s, abayimbi okwali Moses Saali abasinga gwebamanyi nga Bebe Cool, Joseph Mayanja nga ono yayatikiriranyo mubisera ebyo era nga ono yetuuma lya Chameleon, nga kuno kwosa Robert Kyagulanyi Sentamu nga ono yetuuma lya Bobi Wine.

Kinajukirwa nti Bebe Cool yali wankizo nnyo kubasaatu olwensonga ebiseera ebyo kitaawe yali Minister wa Local Government wadde nga ono yalekulira olwensonga nti yayawukana ne president Museven olwensonga yakimanya nti ono yali wakudda okwesimbawo mukalulu ka bonna aka 2006.

Ye Bobi Wine ne Chameleon embera teyali nunji olwensonga baali tebalina bulunji sente. Chameleon yatandiika nga Dj wa Missouri night club mu Kampala mumwaaka gwa 1996 wabula oluvanyuma neyegata ku Ogopa Djs nga eno jeyakubira oluyimba lwe olwa bageeya olwamuleeta munsiike yokuyimba nga luno yalukola ne Redsan.

Bebe Cool yeyasooka okulaba  enjuba mu 1997 bweyegaata ku kibiina kyebayitanga Ogopa Djs nga kino kyali Nairobi mu Kenya wabula ono yatuuka nabeyawulako nakomawo e Uganda.

Bobi Wine ye omuziiki yagwetabamu mu mwaaka gwa 1998 wabula mu 2000 weyakubira akayimba akamutunda ennyo aka Kagoma

ENTALO ZABWE WEZATANDIKIRA

Abayimbi bonsatule bano bafuna obuzibu bwokusangawo abayimbi abakadde abaliwo nga kino kyabawa obuzibu olwokuba bajira mukifananyi kya balasi. engeri jebalina obuzibu bwokufuna abawagizi ebiseera ebyo, batandika entalo wakati wabwe basobole okwogerwako mumawulire.

kinajukirwa nti Bobi Wine yasoka nakwatagana ne Bebe Cool nebatandika okulwanyisa Chameleone era awo abantu batandika okubanenya okwegata nebatandika okulwanyisa munabwe, lumu Balina ekivulu Bobi Wine yali akyayimba Chameleon najja nemotoka ye jeyalina empya ebisieera ebyo najiyisa mubawagizi abali banyumirwa Bobi Wine nga ali ku sitegi.

Olwentalo ezaaliwo nga ezimu zagendererwa kukola mawulire, bakola oluyimba lwebatuma Funtula era wano badamu nebakwataganira ku sitegi nebaluyimba bona nga era bakozesa akazindalo kekamu.

CHAMELEON AYAWUKANA NE BOBI WINE

Wayita akabanga kanene nga abayimbi bano buli omu awalana munne wabula entalo bazijja mu nyokuyimba nebaziza mubyobugaga byebali batandise okufuna nga wano Chameleon yali amaze okuzimba amakka ge e Seguku natandika okusomoza bobi Wine.

Kino kyavirako Bobi Wine okuzimba amakka ge agali e Magere nga wano Bobi Wine yazimba amakka agaali gasinga aga Chameleon ekintu ekyamuluma ennyo.

Wabula wadde waliwo entalo nyinji  Chameleon yamala natabagana ne Bobi Wine mu 2007 era okuva kwolwo tebadangamu kwawukana.

BOBI WINE AYAWUKANA NE BEBE COOL

Okuva bebe cool ne Mukyaala we Zuena webakyawagana awo olutambi lwokwawukana okwadala wekwatandikira, Zuena bweyanoba bebe cool yafulumya oluyimba lwa ‘Agenze” wano Bobi Wine nafulumya oluyimba lwa ‘Mwesotinge’ nga awabula Bebe Cool ekintu ekyaanyiiza enyo Bebe Cool, yadako oluyimba lwa ‘Bamugambe’ nga nalwo yali aluwereza mukazi we eyali anobye ebisera ebyo.

Oluvanyuma yamala nakomawo era wano Bobi Wine yamukubamu oluyimba lwa ‘Kasepiki’ ne Bobi Wine namwanukula nolwa Mr. Kataala, wano bekuba obuyimba obwenjawulo okwali naka Matyansi Butyampa nga kano bobi wine yakakubamu abayimbi bano ababiri.

Bebe Cool yaleeta baganda be abayimba oluyimba lwaba Kiwooko ebisera ebyo nabo nebamwegatako ebisera ebyo okulwanyisa Radio ne Weasel kwosa Bobi Wine.

Enaku zomwezi zaali 11,June 2009
Twali awo Nakivubo nga munange omunene munene ajja agamba mbu ye ne Chameleon bebayimbi abaamanyi abaliwo emyaka ejoo, awo Bobi wine jeyafubutuka teri yamanya nalyoka akuba Bebe Cool enguumi nayiwa amalusu era bwatyo nokuwunga nawunga,

BATTLE YA BOBI WINE NE BEBE COOL

Oluvanyuma lwokwekuba enyimba eziwerako, wategekebwawo battle mumwaaka gwa 2012 era nga eno yali ku Kyadondo Rugby grounds era nga wano bekuba omuziki wabula mpawo nomu yakiriza nti yeyali awangudwa era awo omuwanguzi teyafunibwa.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

17 − 11 =

Most Popular

To Top