Ensonga 5 lwaki Bobi Wine tatidde musango gwa Mabirizi.
Sabit ewedde abawagizi bekisinde Kya people power awamu naba NUP bagwamu ekiyongobero oluvanyuma lwamunamateeka Male Mabirizi okuvaayo nalaliika nga bwagenda okulemesa Bobi Wine okwesimbawo mukifo kyobwa Pulezidenti wa Uganda mu kalulu kabona aka 2021.
Kino kyeralikiriza era kitiisa abantu banji nadala abo abawagira Bobi Wine olwensonga nti bwageze natabeera kukalulu awo minsoni jebaliko ebeera eyiise.
Naye ekyeewunyiisa gwebawawabidde ye tayina kyatya wadde okwekaangamu era wano wetusinzidde okukola okunonyereza kwaffe netuzuula lwaki Bobi wine teweralikirira musango gwa Mabirizi.
1. Bobi Wine akimanyi yasoma era buli kibiina ekimukiriza okwesimbawo yakituukamu, Mabirizi talina bukakafu bulaga nti Bobi Wine teyetuulira bigezo bya siniya eyokunna.
2. Bobi Wine kituufu yatuula ekibiina ekyomusanvu nga alina emyaaka 10, kino kyaava kumagezi geyalina amanji nga gano gamusobozesa okukola ebibuuzo byekibiina ekyomusanvu nga wadde yali akyaali mu kibiina ekyomukaaga.
3. Bobi Wine teyasoma bibiina bya Nursery, nga abaana abato nti eddala lyebyokusoma balitandikira mukibiina ekya Nasale, Bobi Wine yakinoganya lwatu nti mubulamu teyasoma ku bibiina bino ebisokebwamu olwensonga nti maama we yamusomesanga nga akyaali muto era mukutandika yatandikira mu P1 nga alina emyaaka 3.
4. Bobi Wine alina emyaaka 38, kitufu Bobi yazalibwa nga 12,Feb,1982 era nga nabuno bukakafu obumala okulaga nti aweza emyaaka 38 era omwaka ogujja ajakuba aweza emyaaka 39.
5. Male Mabirizi munakatemba era nga kino kyeyolekera mumisango jaze awawabira abamusinga okuli ne Kabaka wabuganda wabula nga tawangula bakira awangulwa era kijukirwa nti bamuwangula omusango gwa kabaka kooti nemulagira aliwe million 100 zatalina era Buganda nemusonyiwa, olwokuba nga munakatemba Bobi Wine kino tekirina wekimutisiza
Also Read:Bebe Cool set to Reconcile with Bobi Wine and join NUP