DPC we Mityaana akyusidwa bamusindise walala!.
Nga bweri enkola ya Uganda nti akoze ekikolobero tavunanibwa wabula akyusibwa, bwegutyo bwegubadde nga abadumira okukuba omukka ogubalagala mu bekiika kye Mbogo awamu namasasi mu disitulikiti ye Mityaana bakyusibwa nebasindikibwa mubitundu ebirala
DPC Alex Mwine awamu RPC Bob Kagarura abadumira okukuba omukka ogubalagala basindikidwa mu Hoima kwosa ne Bukedi nga eno jebagenda okukakalabiza emirimu jabwe nga bwegubadde.
Olunaku lwegulo, Polisi yakyiise eri embuga neyetonda olwebikolwa ebyakolebwa ku basajja ba Kabaka e Mityaana era wano kiteberezebwa okuba nti wewavudde kalunsambulira wokukyusibwa kwabakulu bano.
Kinajukirwa nti omukolo guno gwali gwakwoza yoza omukulu wekika kye Mbogo Kayiira era nga omu kubazukulu be Kyagulanyi Sentamu Robert abasinga gwebayita Bobi Wine yali asubirwa okuberayo era nga wano abakuuma ddembe webajirayo emigemera wala nebatandika okukola gwebategera okukakana nga abakulu ku kasolya bagenze bafeesa.
Also Read:Katikiro akubye Bobi Wine akaama, bibino ebibadde mulusisinkana lwabwe.