Entertainment

Daxx Kartel bamutute mu Kkooti bagala 30m lwakuba luyimba.

Omuyimbi Daxx Kartel Omunyeruba ali mukattu oluvanyuma lwokutwalibwa mu court kunsonga ezekuusa kukuba oluyimba lwabaana be Jinja bebayita ba abadongole.

Okusinzira kumawulire getufuna wano ku Fremer Media, abadongole baana be Jinja abafulumya oluyimba lwabwe nebalutuuma “Tikabitya’ wabula bagamba nti bekanze nga bawulira ate oluyimba lwabwe lubidwa omuyimbi Daxx Kartel nga ono yaluyimbiddewamu ne Bigolis era bo balutuumye “Sikyabitya’ wabula nga tebalina kyebakyusiza okujako okukyusa olulimi lwolusoga nebaluza muluganda.

Okusinzira ku badongole bagamba nti pulodusa wenyimba SideSoft yabakubirako nabategezako kunsonga eno wabula bo bagaana wabula kyabakanze nga bawulira nga SideSoft yeyalukoze.

Bwetwagezezako okutukirira Daxx Kartel, yatutegezeza nti yetanaba kubako kuluyimba luno kuba era siyenyini lwo era bwatyo nategeza nti bamusaba busabi kusaamu doboozi.

Wabula bo a badongole bategezeza nti Daxx Kartel alina okubasasula million ezitaka wansi wa 30 ekintu Kartel kyeyawakanyiza.

Ekifananyi ky’ abadongole

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

ten + five =

Most Popular

To Top