Luganda news

Bobi Wine Mayuge ekimukoneddemu. – Fremer Media

Enkya ya leero omukulembeze we kibiina  kya National Unity Platform Omukulu Robert Kyagulanyi Ssentamu nga era yegwanyiza entebbe ye gwanga enkulu akedde mubuvanjuba bwa Uganda mu kukuba kakuyege we ayingidde kati sabiiti eyokubiri.

Kyagulanyi atandikidde mubitundu bye Mayuge nga eno asabye abantu boona naddala abavubuka okwenyigira mukulonda okugenda okuberawo muntandikwa yomwaaka ogujja nga 14, omwezi omubereberye (January).

Bobi wine nga ayogerako nabantu be mayuge

Bobi wine e Mayuge

Mukwogerako nabawagizi be ababadde bakunganidde kukisaawe ekiri okumpi ne yafisi zekibina kya NUP, Kyagulanyi abategezeza nga bwagenda okudamu okutumbula embera yabantu mu Mayuge nga kino wakukikola nga afunira abntu bayo akatale kebikajjo akalungi.

Era eno alazze obwenyamivu eri omukulembeze aliko Yoweri Museveni nti ono akoze kyamanyi mukwavuwaza abantu be Mayuge era bwatyo nabasabba ebizibu byabwe babimukwase affuuke omukulembeze we gwangga Uganda omwaaka ogujja.

ALSO READ : Bebe Cool is my Product, you can’t compare him to Bobi Wine, Tuff B

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

five + eighteen =

To Top