Entertainment

Big Eye atandise olutalo ku Museveni.

Omukubi wemiziki Ibrahim Mayanja abasinga gwebakazaako erya Big Eye atandise olutalo kumukulembeze wegwanga Yoweri Kaguta Museveni nga amulanga obutamusasula.

Akabanga akayise omuyimbi Big Eye yavayo nasaba Pulezidenti wegwanga Yoweri Kaguta Museveni okumuyambako kumbeera eyali emufukiidde ekizibu olwobwavu wabula wadde nga byaali bityo omukulu ono teyayambibwa.

Big Eye era yavaayo nalagira Museveni amusasule sente ze zeyakolerera oluvanyuma lwokukuba kampeyini ezaaleeta Museveni muntebe yobwa Pulezidenti mumwaaka gwa 2011, wadde nga byalibityo Fullfigure yavaayo nalagira Big Eye okuva ku Museveni kubanga mbu yali tayina kyeyamukoleera era nategeza nti mumwaaka gwa 2011, omuyimbi Ono Big Eye yali wololo wa Eddy Kenzo mbu olwensonga nti Eddy Kenzo ebisera ebyo yeyalina oluyimba olwaliiko olwa ‘Sitamina’.

Ebanga eriyise, Big Eye yali yagobebwa ku sitegi nga abakikola bebawagizi era nga kyaava kunsonga zokuwagira omukulembeze wegwanga Yoweri Kaguta Museveni.

Sabiti ewedde, oluvanyuma lwa gavumenti okuleeta amateeka amapya agagenda okulambika ensiike yebyokuyimba, Big Eye yavudeyo neyemulugunya kunsoga eno era nategeza nga bwagenda okuwagira Robert Kyagulanyi Sentamu abasinga gwebayita Bobi Wine mukalulu kobwa Pulezidenti wegwanga aka 2021 nga agamba nti ono yeka yasobola okutegeera ebizibu byabayitamu nga abayimbi.

Kinajukirwa nti omwaka oguwedde ogwa 2019, Omuyimbi Big Eye awamu ne King Micheal bafuna ente amakumi asaatu buli omu nga zino zabasakirwa omutegesi webivulu amanyikibwa nga Sabavulu Balam era nga azijja wa Pulezidenti wegwanga Yoweri Kaguta Museveni.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

15 + 5 =

Most Popular

To Top
advanced-floating-content-close-btnFortebet banner
advanced-floating-content-close-btn" rel="noopener" target="_blank">Fortebet banner