Politics

Ensonga 10 eziwa Bobi Wine enkizo yokufuuka Pulezidenti.

Robert Kyagulanyi Sentamu abasinga gwebayita Bobi Wine yomukubavubuka abakyuusa embeera zabwe okuvva kussa erinyomebwa okutuuka kweryo erimuweesa ekitibwa.

Kyagulanyi Sentamu yazalibwa mu 1982 era nga sekukulu aweza amakumi 38 zeyakalya, nga yazalibwa omugenzi Jackson Wellington Sentamu abasinga gwebayitanga Kivebulaya awamu nomukyaala nga kati mugenzi Nalunkuma. Kino no kimufuula omusajja omuganda ajjude.

Nga bweri enkola yaffe wano ku Fremer Media tukuletedde ensonga ezenjawulo kumi eziwa Bobi Wine enkizo yokufuuka omukulembeze wegwanga Uganda addako.

Ensonga 10 ezenjawulo eziwa Bobi Wine enkizo yokufuuka Pulezidenti

1. Bobi Wine muvubuka omuto atte nga mukoozi nga kino kimuletera okufuna obuwagizi mubavubuka abenjawulo kubanga nabo bagoberera omuntu oyo ali mu mulembe ogwo nabo gwebagobelera ate nga mukozi.

2. Bobi Wine musajja wampisa, ekikyasinze okuwesa Bobi Wine etutumu mubyobufuzi nokwagala okuva mubantu zempisa omulenzi ono omuto zazenga ayolesa okuva mubuto bwe mpaka kati, Bobi Wine yemuntu eyalemwa okweraga era nga alaga nti ayaniriza bulimuntu kwosa nokusa mubuli omu ekitiibwa era nga kino kimuwaddenyo okwagalwa okuvva mubantu.

3. Bobi Wine alina keyekoleddewo, obutafananako nga banabyabufuzi abalala, Bobi Wine yakula amanyi enaku ye era nga kino kyamuletera okubeera omukozi enyo era nga wano akoze ebintu binji ebyenjawulo omuli okuzimba amakka gge agasangibwa e Magere, Ekizimbe ki Semakokiro plaza, One love beach kwosa nebizimbe ebyenjawulo, kino no kiwa bulimuntu esuubi nti ono entebe abawakujiyingiramu nga mugaga era aba wakuwereza bantu.

4. Bobi Wine tasosola mumawanga, kino azze akyoleka nga ye omuntu era nga avumirira nnyo obutali bwenkanya mumawanga nokwesosolegana, era kino ekyobutasosola mumawanga akyoleka lwatu, omukyala gweyawasa Munyankole, mikwano je okuli Nubian Li, Sir Dan Magic, kwosa nabalala bakolagana nabo bamuyambyeko nnyo okwolesa ekintu ekyobutasosola mumawanga.

5. Bobi Wine enyimba zze zimuwa nnyo enkizo, Pulezidenti Museven yali mugezi bweyagaana omulenzi ono obutadamu kukola bivulu awamu nokusiba enyimba zze kuba yamanya ekiyinza okuzivaamu wabula kino tekyalobera Bobi Wine kusigala nga afulumya enyimba ezogera kwebyo ebiruma abantu era twekanga wona zituse.

6. Okuzibula abantu amaaso, Bobi Wine akozenyo mukuzibula abavubuka kwosa nebanayuganda banji nnyo amaaso nga abalaga nti obuyinza bulina kubbera eri bbo sosi abo ababafuga, kino kyekisinze nokumuviirako okuba nga banji bamugoberera olwensonga nti bamulaba nga mununuzi.

7. Ekiffo kyalimu kubwa omubaka mu parliament akikirira Kyadondo eyobuvanjuba kimuwa nnyo amaanyi netutumu era nga kino nakyo kigatako abantu abasinga okumwesiga.

8. Bobi Wine mumanyifu, amaanyi galina mulinyalye gasinga nayekenyini nga omuntu, Kyyagulanyi Bobi Wine alina erinya nga lino litambudde munsiike yomuziki okumala emyaaka 20 agayise nga kino nakyo kimuyambako okumanyibwa munsonda zegwanga ezenjawulo.

9. Ekisinde kye ekya People power kyeyatandikawo tekyawula mubibiina ebyobufuzi nga kigaata abo bona abanyigirizibwa kunjuyi zombi kale nakino tukitunulira nga zezimu kunsonga nene.

10. Emikwano jje abali mu gavumenti, Bobi Wine asiiba akyogera lwatu nga bwalina obuwagizi awamu nabamusamu sente okumuyambako mukutambuza emirimu jekisinde awamu nokumuwa kumagezi kubutya bwayinza okukwasaganyamu ensonga ezenjawulo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

twenty − two =

Most Popular

To Top