Entertainment

Sylvia Kuliva alaze omugaga Kaye omukwano mu vidiyo yoluyimba lwe

Omuyimbi Sylvia Kuliva afulumiza video yoluyimba lwe olupya lwebayita sweetheart mwalagidde omukwano eri omugaga ate nga ye Manager we Omukulu Kaye Richard nanyini Kaye Property Consultant.

Oluyimba lwa Sylvia Kuliva luno lwogera kumboozi yabagalana abaava mukweyita amanya gabwe nebatandika kweyita mannya ga love nga bweyayimba mu luyimba luno olwa ‘Sweetheart’

Sylvia Kuliva yayatikirira nnyo bweyayimba akayimba kebayita “Love meter’ akanyumira ennyo abagalana era nga bwebumu kubuyimba bwe obuwoomu obumuwadde etutumu.

“Akàyimba ka sweetheart nakayimbidde bawagizi bange olwensonga bamaze akabanga nga bansaba mbayiwemu akayimba ka love era nange sabajemedde kwekubakubira Kano aka sweetheart”, Sylvia Kuliva bwatyo bweyategezeza bweyabadde ayogerako nemunamawulire womukutu gwa Fremer Media.

Akàyimba ka sweetheart aka Sylvia Kuliva kalabireko wano

https://youtu.be/ZlNQXntbZwY

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

three × four =

Most Popular

To Top