Luganda news

Omuwala atulugunyizibwa mumakka ga Bryan White alajaana

Omuwala enzaalwa ye Rwanda nga ono ye Stella Nandawula nga wamyaaka 29 avudeyo nga alajanira obuyambi oluvanyuma lwokubulwa ekidako nga ali mubuwambe mumakka gomugaga Brian White.
Nandawula nga ono azalibwa omukyaala omuganda ate nga kitawe munya Rwanda agamba yasikirizibwa okujja e Uganda nga aze kunonya sente oluvanyuma lwokulimbibwa “Blogger’ amanyikibwa nga Kirabira Edison nga ono akola gwakufunira bawala abasajja abagaga.
Omuwala Ono agamba nti bamutunda ewomugaga Bryan White era nga agamba nti Ono amukozeseza emirundi ejiwerako ate nga nembuto zabadde amufunisa babadde bazijangamu.

Ono awanjagidde bekikwatako okumudukirira kubanga ayolekedde okufira mumakka gomugaga Bryan White.
Wabula Bryan White tanabako kyayogerako kunsonga Eno.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

sixteen + 11 =

Most Popular

To Top