Luganda news

Kitalo!!! omu kubaana kapalaga Baibe babadde ajanjaba omutima affudde!- Fremer media

Omu kubaana eyali omukozi woku radio Micheal Kakande amanyikibwa nga Kapalaga Baibe nga amaanya ye Zulufa Nabaale affude.

Omugenzi abadde aweza emyaaka ettaano nga era yazalibwa nga alina ekituli kumutima, bwatyo Maama we nga ono mutuuze we Kasawo mu disitulikiti ye Mukono yamutwala mu kibiina ekiyamba abaana abalwadde bemitima ekyatandikibwawo Kapalaga Baibe nga kino bakiyita Kapalaga Heart foundation.

Kapalaga nga akozesa erinya lye kwosa nomukisa ogwamuwebwa lediyo Simba jeyali akolera, basobola okusondera omwana Ono Kati omugenzi esente ezamutwala ebuyindi okumulongosa omutima era nga ono mumwaka gwa 2018 yatasibwa era okulongosebwa nekugwa bulunji wabula ebyembi omwana Ono tasobodde kusimatuka.

Kapalaga atadde obubaka obukungubagira family ya Nabaale Zulufa nga ayita kumukutu gwe ogwa Facebook jasinzira mu Boston.

Omwoyo gwomugenzi Omukama aguwumuze mirembe.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

17 − 15 =

Most Popular

To Top