Celebrity

Harry Kazibwe yefuze kalantini noluyimba lwe olwa Kyanoga.

Musaayi muto Harry Kazibwe ayongedde okutangaaza emikisa jje munsiike yokukuba emiziki mu Uganda oluvanyuma lwokufulumya oluyimba olukyaase ensangi zino olumanyibwa nga Kyanoga era nga baana bawala balukozesa nnyo nga beteenda nga ekyogero ekyabanazibwa bwekyanoga.

Harry Kazibwe oluyimba lwa Kyanoga yalufulumya omwezi ogwokusatu mubiseera abayimbi be Uganda mwebasingira okutiira okufulumiza enyimba olwensonga nti egwanga lyaali ligenze mu lockdown.

Bwetwamubuzizaako kukyaama kyeyakozesa oluyimba lwe luno okukwatayo yatutegezeza nti, oluyimba abantu balwagala nnyo nga kino kyaluwa enkizo okutambula amangu ate era natendereza management jaalimu nga omuyimbi eya Dennie Management olwokukola obutaweera nebatambuza oluyimba luno mubisera ebizibu.

Aba ayagadde okufuna oluyimba luno olwa Kyanoga kozesa link eno https://mobile.howwebiz.ug/song/31638/kyanoga/4777/harry-kazibwe

Harry kazibwe ayina enyimba ezenjawulo, okuli Kyanoga, Tediba, Mutima, Tondeka, Dot Com love,  awamu ne olwa Nkwagala bingi.

Bwetwamubuzizaako kungeri jeyetegesemu okuzzakukayimba ka Kyanoga, Harry Kazibwe yatutegezeza nti alinayo akàyimba akalala kagenda okusabukulula mukabanga katono nyo.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

four × 2 =

Most Popular

To Top