OPINION

Ensonga lwaki olina okwewala okujerega Bobi Wine.

Posted on

Wano kunsi tulinako abantu katonda beyayiwako amafuta awamu nokubawa emitima emigumu, bwetwogera kubantu abagwa mukiika bwekiti tuba tutegeza kwabo abantu abasobola okukola ebintu ebisinga okutiisa kwosa nebitajja mumyaaka jabwe nga kino kiviira ddala kukwogerera kwebafuna okuva mubantu ababa babetolode. Bwetuba tuwa ekyokulabirako amaaso gaffe twagatadde kumunabyabukulembeze Robert Kyagulanyi Sentamu abasinga gwebamanyi nga Bobi Wine.

Oyinza okwebuuza lwaki omukulu ono tumunokoddeyo mubanji ensonga zezino wamanga lwaki twalonze Bobi Wine era bwonamala okuzisoma oyinza obutadamu kunyoma muntu yenna olwekyo kyakiririzamu nti mubulamu bwe abeera akisobola.

Ensonga lwaki olina okwewala okujerega Bobi Wine

Njagadde nkunyumize olutambi lwa Bobi Wine nalwaki olina okwewala okumujerega bwabako nekyakiririzamu.

  • Bobi Wine bweyali omuto nga wamyaaka 10, yalowooza okugula engato ye eyasooka mubulamu bwe era nga eno mukujigula kyaava kumusomesa eyamujerega olwengato eza lugabire zeyagenderamu kusomero, kino no kyamuwaliriza okulunda embuzi ye ewaka nga eno nesente zeyajigula zaava mukulima pamba ekimu kubirime ebyaliwo nga kyaali kyatunzi nnyo ebisera ebyo era olwakunganya akasente omukulu ono kwekukagulamu embuzi era bweyakula yajiwa kitaawe nga kati yemugenzi JW Sentamu ajitwale ajimutundire bwanaba akomawo kukyaalo akomewo nengato ezaali ezebeeyi era bweyagenda kusomero bazimugobya olwokuba nabasomesa kusomero eryo tebazirina okujako ye yeka.

  • Bobi Wine bweyali atandika okukuba emiziki mugandawe Eddy Yawe yamukugulira nnyo okuyimba nga agamba nti yali tasobola wabula olwokwekiririzamu, Bobi Wine yatandika okuyimba nga nemukulu we ono tategedde era yamwekanga afuuse omu kubayimbi abaali abetutumu mubiseera ebyo.
  • Bobi Wine nga tanaba kuzimba makka ge agasangibwa e Magere, omuyimbi wa Kadongo kamu yamusisinkanako eyo mubitundu bye Jinja namulangira nga bwali ekinyonyi kyebayita Enganga era nga agamba nti abeera atya nga muyimbi wamanyi mu Uganda naye nga asula mukazigo era namujererga nti ayinza atya okubeera pulezidenti wa Ghetto nga era ebiseera ebyo weyali yeyita kyoka nga talina state house era abajukira akayogaano ako, eyali omumyuuka we ebiseera ebyo Buchaman yavaayo alumbagane Kiweewa olwokuyisamu amaaso mu pulezidenti wabula Bobi Wine namukakanya, ebiseera ebyo muyimbi munne Jose Chameleon yali amaze okuzimba amaka gge agasangibwa e Seguku, kino no kyakuba wala nnyo Bobi Wine era bwatyo nasalawo okuzimba mutaka lye lyeyali aguze mubitundu bye Magere mu Kasangati era nga eno yazimbayo amakka amanene okwongera okwoleka bwali ghetto president.

  • Mumwaaka gwa 2007, omuyimbi Jose Chameleon bwebaali mumbiranye yebyobugaga yayingizawo emotooka empya ekika kya Escalate era nalya nnyo oluvimbo nga enjogera yenaku zino bweri nga ebiseera ebyo Bobi Wine yali akyavuuga emotooka ekika kya Pajero, era awo weyava naye nagula emotooka ekiika kyekimu naye nga yabeeyi nokusinga eya Jose Chameleon era bwatyo najituuma Ghetto 1.

 

  • Ne jjo lyabalamu mumwaaka gwa 2017 president Museveni weyali ayogerako eri egwanga, yajerega Bobi Wine nti talowoza nti ebyobufuzi kuba kuyimba olwensonga mbu abantu be Kyadondo baali balonze Bobi Wine olwensonga mbu yali muyimbi okusinzira ku president. Kino kyekimu kubyawa Bobi Wine obuvumu bwokulumba nga tatya asobole okukakasa Pulezidenti museven era kinajukirwa nti mumwaaka gwa 2019 yavaayo nalangirira nga bwagenda okwesimbawo kubwa pulezidenri bwa Uganda mumwaaka gwa 2021.
  • Balam lweyajerega Bobi Wine nti people power yiye era nga yawandisa dda erinya lino nga ekitongole ekigenda okuyamba awamu nokudukirira abakadde.kino no bweyakikola kyali nga ekiwa muna byabukulembeze eno amannyi era mubutamanya, omwaaka gwa 2020 nga enaku zomwezi 14 mugwomusanvu, Bobi Wine awamu neyali akulira ekibiina kya National Unity Platform omukulu Kibalama bakyuusa obukulembeze okukakana nga Bobi Wine affuuse pulezidenti wekibiina kyebyobufuzi kino era nga kyatesetese okujirako mukalulu kaboona aka 2021. Kinajukirwa nti ne Nobert Mao yamujerega nga bwatalina center number(ekibiina kyebyobukulembeze)

Ekyokuyiga

oluusi abantu betutunulira nga ekyokuzanyisa ate ebiseera ebisinga bebabeera nobusobozi obwokukyuusa ensi, nga Daudi mu bayibuli wetumusomako nga bweyafafagana nomusajja eyaki atiibwa ebisera ebyo Goliath okukakana nga omukubye kutaka, nabantu abasinga olusii twewale nga nnyo okubanyoma nti tebasobola kuba muboo babera betademu okukiriza nti ekintu ekyo bakisobola era oyinza okwekanga nga bakoze gwekyotasubira nti kisoboka. Katondo aliwamu nabo abakiriza nti ebintu bisoboka kasita oba nga omwesize.

Also read: Bobi Wine was beaten by a teacher for putting on an expensive shoe at 10 years.

Manchester City Dumped Out Of The UEFA Champions League

Click to comment

Most Popular

Exit mobile version