Relationship

Engeri 5 zomanyirako nti omwagalwawo yakukyaawa. – Fremer Media

Ebisera ebisinga abantu abamu bagwa mumukwano wabula omukwano gwabwe negutawangaala kumala kasera kanene. Kino olusi abakyaala abasinga kibaletera okulowoza oba tebatukirira eri bagalwa babwe ate nga nabamu olusi abasajja bebabera bawadde omutima babakyaawa nga ate bo omukwano babadde namunji.

Abasajja bangi bekanga bakyaaye abakyaala bebabera bakwaanye olwensonga ezenjawulo, oluusi abasajja abamu bakiisa kubakyaala obutaba nampiisa, emikisa, okubaasamu oluseeke lwokubasaba sente nga kuno kwosa nokubakambuwalira. Kitufu ate nga kyadala abakyaala abamu babera nobusungu obunji nebatamanya nti abasajja beziira muntu abakambuwalira nga kino olusi kiviraako abasajja okugaana okukwata amasimu gabakyaala babwe noluusi okugaana okudda ekka. Nga omukyaala, ofubanga nnyo okukuuma obukambwe bwo kuba kyandivirako omusajja okwesonyiwa nokukyaawa. Ye abaffe olabira kuki nti omusajja wo yakusuulawo dda nga tomanyi.

Engeri 5 ezenjawulo womanyiza nti Omusajja wo yakukyaawa nga tomanyi
1. Bwabeera nga abodde omubeera wala, omusajja atandika mpola mpola okwesalako, aba takyayagala kuwuliza bwosibye oba bwewasuze nga kino akikola enfunda ezenjawulo nekigendererwa ekyokuleka otandike okumanyira embera nga toli naye

2. Abasajja abasinga batandika okwekambuwaza nga mukino lwoyogeddeko naye afuba okulaba nga ayogera ebikunyiiza osobole nawe okutabuka noluvanyuma mulujemu oluyombo, omusajja afuba nnyo okwekambuwaza asobole okutiisa okudamu okuyoya okwogerezeganya naye.

3. Bwemuba muwuliziganya  kumutimbagano, atandika okusaayo ebifananyi byawala abalala asobole okukulumya omutima kikuvireko nawe okusayo ekifananyi kyomuvubuka omulala oluusi abera akwaana. Kano no abasajja abasinga bakakozesa nga katego nga nekakutanda nokagwamu olwo nga omanya ebibyo biweede.

4. Abadde tabera busy, atandika okwefulirako busy nga nebwokuba esiimu oluusi takwaata ate olundi bwakwaata akugamba nga bwabadde busy nti era ajakukubira edda era ebisera ebisinga takuba.

5. Atandika obutakubulira kubibalo bye era ebisera ebisinga wekanga ebintu ebimu abikoze yekka, era awo atandika okujja mubibalo oba plans  zze.

Bwotandika okulaba ebintu bwebityo nga  omusajja wo abikola, Bukodyoki bwoyinza okukozesa notaasa omukwano gwamwe bwoba nga obadde okyamwagala. Obukodyo tubukuletera mukitundu kyaffe ekyokubiri

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

17 + 16 =

Most Popular

To Top