Bobi Wine adidemu Big Eye wabula amuteredeko obukwakulizo
Okumala akabanga akanene nga omuyimbi Big Eye alajanira muyimbi mune ate nga era munabyabufuzi, Robert Kyagulanyi Sentamu amuyambe ayogere nabawagizi be balekere awo okumukuba obucuupa buli waba alinye ku stage kyadaki bobi Wine amudidemu .
Bweyabadde ayogerako ne bana Mawulire mumaaka ge agasangibwa e Magere, bobi Wine yategezeza nti Big Eye yomu kubaana beyakwatako okufuuka abayimbi abalunji mugwanga wabula agamba akukuluma olwokuba nga omwana gweyasitula mu byokuyimba yasalawo okudda ku ludda lwekibiina ekiri mubuyinza era nga awagira Pulezidenti Museven.
Bobi Wine yagambye nti Big Eye asalewo abere wamazima era nga ekyo agamba nti kyekijja okumutaasa okuba nga akubwa obucuupa, wabula era naye yamusomozeza bweyamugambye nti ‘Omuntu gwowagira yanemesa okukola omulimu gwange ogwokuyimba nga tewali teeka limugaana, nze nga tewavaayo kunwanirira’
Wabula Big Eye nga ayita kumukutu gwe ogwa Instagram, yategezeza nti ye simwetegefu kuva kuludda lwa Museven era bwatyo yebaziza Bobi Wine naye namutegeza nti ekintu kyayogerako ye simwetegefu kukikola.