Luganda news

Ebya Bobi Wine sibirungi, 31 basindikiddwa ku limanda ku musango omukambwe

Ebya Bobi Wine sibirungi, 31 basindikiddwa ku limanda ku musango omukambwe, aba famire basobeddwa

Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Iganga aliko abawagizi ba Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) 31 basindise ku limanda mu kkomera lye Busesa mu disitulikiti y’e Bugweri ku misango gy’okukuma mu bantu omuliro, ekiyinza okutambuza Covid-19.

Banno bakwattiddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, Poliisi bwe yabadde ekwata Kyagulanyi ku kitebe kya disitulikiti y’e Luuka ssaako n’abo abakwattiddwa mu kwekalakaasa nga bawakanya okusiba omuntu waabwe.


Omulamuzi Josephine Dembe bonna abasindise ku limanda okutuusa nga 24, November, 2021 kyokka abaana babiri (2) bayimbuddwa kuba bakyali bato.

Wabula wadde abawagizi ba Kyagulanyi baleteddwa mu kkooti, Kyagulanyi talabiseeko, ekyongedde okutabula abantu be omuli ne bannamateeka nga bakulembeddwamu Anthony Wameri, abawagizi be ssaako ne famire ye.

Ssaabawandiisi wa NUP Lewis Lubongoya agamba nti balina okulwana okutuusa nga Kyagulanyi ayimbuddwa oba okutwalibwa mu kkooti okusobola okuddamu okutambuza Kampeyini ze.

Read also : Is Nup President Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine safe?

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

2 × five =

To Top