Munnansi wa German Benn-Han Glazer afiriidde mu kkomera e Luzira
By
Posted on

Munnansi wa German Benn-Han Glazer afiriidde mu kkomera e Luzira enkya yaleero gyeyatwaliddwa nga ssente z’okumweyimirira zikyabuze.
Ono yakwatibwa navunaabibwa emisango 15 okwali okukabasanya abaana wamu n’okubakukusa.
Ono yakyuusibwa nagibwa mu kkomera e Masaka nebamutwala e Luzira.
Yasaba ateebwe ku kakalu ka Kkooti adde ku butaka e Germany afune obujanjabi obusingako wabula Kkooti nesaba obukadde 30 obwakakalu kaayo ezalema abantu be okufuna bwatyo nazzibwa ku alimanda.
