Celebrity

Byobadde tomanyi kubulamu bwa Bobi Wine nebyobugaga bye – Fremer Media

Robert Kyagulanyi Sentamu amanyikibwa ennyo nga Bobi Wine nga Ono munakisinde Kya people power ate nga era mubaka mulukiiko olukulu olwegwanga nga ono akikirira Kyadondo East.

Yazalibwa nga 12, February, 1982 mudwaliro lye Nkonzi era nga yazalibwa omugenzi Jackson Wellington Sentamu.

Bobi Wine mubuto bwe yali musaja mujagujagu wadde nga yakalubirizibwanyo nebyokusoma olwebula lye sente.

Bobi, yasomera mumasomero  musanvu kudaala erya pulayimale nga kino kyavanga mukalubirizibwa okusasula ebisale byesomero.

Bweyayingira secondary yasomera mumasomero 4 ku daala erya O- Level, wadde nga ebaluwa yebigezo bya Siniya eyokuna yajifunira ku Kitante Hill school, era bwatyo ney’o mukaaga yajifunira ku Kololo SS mumwaaka gwa 1998.

Olwokuba yasoma bulunji nnyo, gavumenti yamukwatirako ku Yunivasite era nga yasomera Makerere nga yasoma MDD mu 2003.

Yafuna “bachelor’s degree in Law’ ku international University eya East Africa era nga Eno jeyasisinkanira omuwandiisi omukulu mu people power David Lewis Lubongoya era nga Ono yali musomesa we ku setendekero

EMIRIMU

Bobi Wine akoze emirimu minji nga kuliko okukuba bulooka, okukwata ensenene, okulima, okusala enviri

Ogwokuyimba yagutandikira mu 2000 bweyafulumya akayimbaka kagoma era kano kamufula watutumu nyo ebisera ebyo.

Bobi Wine alina buzinensi ezenjawulo omuli Amaduuka, hardware, Piki piki, takisi awamu ne bicci ye eyebusabaala.

FAMILY

yasisinkana mukyala we Barbie Kyagulanyi mumwaka jja 2000 era nga ono yamukuba empeta mu August wa 2011

Bobi Wine nemukyaala we Barbie balina abaana babwe banna

Okuli Solomon Kampala Nyanzi, Shalom Namagembe, Shadrach Shilling Mbogo, ne Suubi Shine Nakaayi.

EBYOKUZANYA FIRIMU.

Yalabikirako mu film okuli Yogera nga eno yajizanya mu 2010 awamu ne Situka nga eno yajizanya ne Hellen Lukoma.

EBYOBUGAGA.

Bobi Wine alina ebyobugaga ebiwerako nga kuno kuliko amaaka ge agasangibwa e Magere

 

2. Kino yakizimba wabwe Gomba

4; ebika byemotoka byalina

5. Semakokiro Plaza

  • 6. Magere white house
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

3 + one =

Most Popular

To Top