news

Brig. Flavia Byekwaso omukazi asoose okukulira ekitongole ekyogerera UPDF

Posted on

Byekwaso yazaalibwa December 29, 1971 e Nsambwe mu Ggombolola y’e Kyegonza mu Gomba.

 

 

 

Yasomera mu St. Kalemba e Nazigo mu Kayunga gye yatuulira S4 ne S6. Yafuna diguli mu byobusuubuzi e Makerere mu 1996 n’agattako eyookubiri mu Public Administration and Management mu 2012. Amagye, yagayingira mu 1997 n’atendekebwa Jinja gye yava n’aweebwa obuvunaanyizibwa okukulira entambula y’abakulu mu magye.

 

Wakati wa 2014 ne 2016, ye yali dayirekita w’ebikozesebwa mu magye (Logistics). Mu 2007, yaddayo okutendekebwa mu Junior Staff College e Jinja.

 

Mu 2009, yasindikibwa e China mu Nanjing Military College gye yava mu 2011 n’agenda e Kimaka mu Jinja okusoma Senior Staff Course ate mu 2012, yaddayo e Makerere.

DP party president Mao advice to Bobi Wine

Mu 2016 ng’ali ku ddaala lya Lt. Colonel, yalondebwa okuba omu ku babaka 10 abakiikirira amagye mu Palamenti. Mu 2019, Byekwaso yakuzibwa okutuuka ku ddaala lya Brigadier.

 

Bba ye Charles Kyasanku. Babeera Kyengera ku lw’e Masaka. Kyasanku, yali mukulu wa ssomero lya St. Kalemba era yaliko ne ssentebe wa LC III e Mpigi.

 

Okulondebwa kwe yaguyise mukisa eri abakyala era ajja kufuba obutabaswaza.

“It’s illegal URA to get 30% of disputed taxes”, Justice Kakuru

Click to comment

Most Popular

Exit mobile version