Luganda news
Robert Zida awakanyiza Bobi Wine kubyokujayo empapula
Omuyimbi Mugenyi Robert abasinga gwebamanyi enyo nga Robert Zida nga ono yali musajja womubaka we Kyadondo eyobuvanjuba Omukulu Robert Kyagulanyi Sentamu abasinga gwebayita Bobi Wine, avudeyo nawakanya enkola yokunona empapula ezaabo abagala okwesimbawo nga bayitira mukisinde kya People power.
Robert Zida okwogera bino kidiridde munakisinde Kya people power omukulu Bobi Wine okuvayo nalalika abo bona abagala okwesimbawo nga bayita mukisinde kya People power okugenda ku offisi za people power ezisangibwa e Kamokya mu Kampala okunonanayo empapula noluvanyuma basunsulwemu anabeera nebisanyizo nga oyo People power gwenawandako edusu mukalulu akajja.
Okusinzira ku Robert Zida, agamba nti Bobi Wine ayawukanye nnyo nekunjiri jabadde nga abulira eyokuba nga amaanyi gali mubantu. Era agamba nti people power sikibiina kyabyabufuzi nensonga nti ye talaba nsonga ate ezivirako Bobi Wine okukoowola abo ababera bagala okwesimbawo okugenda okunona empapula.
Robert Zida nga yomu kubagala okwesimbawo mukifo kyomubaka mu paliyament akikirira Kyadondo eyobuvanjuba nga ate era ajukirwa nnyo mukubeera omu kubasajja ba Bobi Wine abokulusegere abamulwanirira enyo okutuuka okuwangula obwa Mp mu Kyadondo eyobuvanjuba mukalulu akaliwa mu 2017.
Bweyabadde alambika ensonga ze, Robert Zida yategezeza nti mu Kyadondo mwoka mulimu aba People power abasoba bataano nga bona bagala ekifo kyekimu nga naye kwali, ekintu kyeyagambye nti Bobi Wine abireke bagende abantu bo nga bo basalewo kwani anabakulembera olwensonga nti amaanyi gali mubantu.
Yagenze mumaaso nategeza nti Bobi Wine aliko abamuwa amagezi amakyamu era nategeza nti abo abagamuwa bebamu ku babadde mubyobufuzi nebonona ebifo byebalimu nga Kati balaba nti bafunye awo kwerandiza nga bayita mukisinde kya People power.