news

Temutusaba mmere nga temuzanya nyimba zaffe – Weasel atabukidde ba Dj

Posted on

Oluvanyuma lwokulangirira Kalantini eyavirako okugala amabaala abazanyi benyimba oba bayite ba DJ mwebali bakolera nga kino kyavirako abamu okubulwa ekyokulya olwokuba basangibwa nga tebeterekera nga nabamu bali zebakolawo zebalya.

Kino no kyavirideko abamu okukuba omulanga eri abayimbi bebabadde bazanyira enyimba zabwe okubadukirira wakiri babafunire kukyokulya kuba enjala ebadde ebatta.

Wano omuyimbi Weasel Manizo avudeyo nabalangira obutazanya nyimba zabanansi wabula nebetanira okuzanya ezabagwirwa era nga wano wasinzidde okubalagira bagende basabe abo ekyokulya kuba bebakulembeza mubuli kimu.

Weasel ayongedeko nti omukwano wakati waba Dj nabayimbi gwandibadewo singa bazanya enyimba zabwe.

Okumala akabanga akayise ba DJ nabayimbi babadde mukusikangana muguwa olwokuba abazanyi benyimba abasinga betanira nyo okuzanya enyimba zabagwira.

 

Click to comment

Most Popular

Exit mobile version