Luganda news
Raphael Magyezi owe Igara West atidde akalulu nakavamu.
Omubaka akikirira Igara eyobugwa njuba Raphael Magyezi adduse akalulu komwaka ogujja akabona era nga wano tagenda kudamu kikirira bantu be Igara West mulukiiko olukulu olwegwanga.
Kino kijidde mukaseera nga Omubaka Mbwatekamwa Gaffa abadde akikirira Kasambya County okusalawo okukuba enkyukiira nadda mu Igara eyobugwa njuba awali Raphael Magyezi ekintu ekireteedde abasinga okulowoza nti oba Raphael Magyezi atidde munne bwebali mukiibmuk Kya National Resistance Movement.
Raphael Magyezi ajukirwa ennyo mukuleeta kwekiteeso ekyatabangula bana Uganda mumwaaka gwa 2017 ekyaali kijja ekoomo kumyaaka Pulezidenti jalina okukomako okulembera egwanga era nga okuva olwo embeera ye nabalonzi tebadde nunji.
Kinajukirwa nti Raphael Magyezi azze afunna okutisibwa tisibwa awamu nokubulwa emirembe oluvanyuma lwekiteeso kyeyaleeta era nga nolusuku lwe lwasayibwa abatamanya ngambwa olwobusungu bwebamulinako.
Abatunulizi bensonga balaga nga Raphael Magyezi nga Ono yalondebwa jebuvuddeko nga minister wa Local government bwayolekedde akaseera akazibu ennyo.
Also Read: Bobi Wine on his Education