Luganda news
Katikiro akubye Bobi Wine akaama, bibino ebibadde mulusisinkana lwabwe.
Olunaku lwolwaleero lwandirwawo okudawo mubyafaayo bya Uganda oluvanyuma Lwa munakisinde kya ‘People power‘ ate nga yemukulembeze wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentambu abasinga gwebakazako erya Bobi Wine okukyaalako eri embuga.
Mukabanga akayise wabaddewo obumulu mulu wakati wabawagizi ba Bobi Wine ne Buganda nga bagamba nti Buganda esirise nnyo kunsonga eziruma bana Uganda.
Wabula webukeredde enkya ya leero nga Bobi Wine ayitidwa e Mengo ku yafeesi ya Katikiro Charles Pater Mayega mwebafunidde emboozi eyakafubo nga bagegese wakati wa katikiro awamu nabakulembeze bekisinde kya People power kwosa NUP.
Mumboozi jebanyumiza, Katikiro asinzidde wano nategezza nga abantu ba Ssabasajja webalina okulonda omukulembeze oyo anabakolera ate nga aweesa ne Ssabasajja Kabaka Ekitibwa.
Ye Bobi Wine asinzidde awo nategeza nga webatali mulutalo na Katikiro awamu no Buganda nga abasinga webabadde babitambuza.
Bobi Wine asubirwa okugenda okutongozebwa kwabo abanesimbawo kubukulembembeze bwegwanga nga enaku zomwezi ssatu omwezi ogwa Musenene.
ALSO READ: Bobi Wine to get a massive win over Yoweri Kaguta Museveni in 2021 elections