Luganda news
Abaganda basaba obwakabaka buveeyo ku nsonga za Zaake – Fremer Media
Abaganda bavudeyo nebaluwa nga eno basazewo bajiwereze owek. Charles Peter Mayiga nga bagaala obuganda buveeyo kubyokutulugunya omubaka Francis Zaake nga ate muganda munabwe.
Mukwenyonyolako Zaake yategezeza nti abamutulugunya bamulangira nga bwali omuganda era nebamutegeza nga awatali muganda nomu alidamu okulembera Uganda.
Bino webyagudde mumaatu gabamu kwabo abetegereza ensonga kuluda lwabavubuka, basazewo kuwandikira buganda ebaluwa eveyo ebereko kyekola kunkutulugunyizibwa baganda.
”
7/5/2020
ERI KATTIKIRO WA BUGANDA OWEKITIIBWA CHARLES PETER MAYIGA
ENS: OLUTALO KUBAAANA BA BUGANDA (HON FRANCIS ZAAKE)
Owekitiibwa Nkulamusizza nnyo nenkwebazza emirimu gyokola mukaseera kano kululwo ngomuntu nekulwabuganda njagala okwebazza olwobubaka bwozze owa abantu ba Kabaka obubayambyeko okwewala obulwadde bwa Covid19
Nga bwokimannyi kiri mumpisa yaffe ensonga yonna enkulu eyabuganda eyitta mu Office yo kiriza sebo nkulopere ensonga eno
Owek nkuwandiikide nga nga nyongera okuteegeza byobadde olaba erra byobadde owuliira kumuzzukulu wa Mawesano eyeddira Engaali Honourable Francis Zaake Butebi omwana enzalwa eyemityana mu Ssingo mutabaani womwami Ssembusi Butebi gwewakolako naye naddala mubiseera ebye “Ttofaali” Mwami Ssembunsi ono tumujjukira olwomulimu gweyakola nawe mubiseera ebyo erra tumwebazza awo wensinzira okugamba nti Honourable Francis Zaake mwana womukungu wa Kabaka ajjudde
Owekitiibwa Kattikiro twabadde tulaba Hon Zaake nga anyumya byeyayitamu mukomera gyabadde erra natulugunyizibwa ebyensuso wabula waliwo ensonga eyankuteko ennyo obwedda abatulugunya Zaake basinga mulanga kubeera “Muganda” erra abamutulugunyiza besigamye nnyo kunsonga yokubeera omuganda nebatuuka nomugamba nti tasubira nti “Wanabawo Omuganda anadamu okulembera Uganda” nebagatako nokugamba Mukyala we “Alekewo omusajja Omuganda kubanga tayina gyamutwala bbo bamutwale ewa President Museveni amuwe ensimbi abeere bulungi” Owekitiibwa kunze kano kabonero akagenderere okulumba nokusanyawo abaana ba Buganda ,Twetaaga okubeera nedoboozi elyawamu okulaba nga omwana Omuganda asigazza eddembe lye nga munnayuganda omulala yenna kubanga okubeera Omuganda ssimusango nakamu ,Olaba basobola okutulugunya Omwana womukungu wa Kabaka bwebatyo atte olwo Omuganda owawansi atayina bwogerero ,Twetaaga okulwanyisa ebikolwa bino
Owekitiibwa Kattikiro Ssabasajja Kabaka azze atukubiriza okukuma obumu mubantu bannaffe naddala bannayuganda awo tetujja kusetuka wo ,Nga abavubuka abaganda tujja kulwanyisa nnyo obusosoze naddala mawanga kubanga tekitwala Buganda mumaaso ,Naye tetujja kusirika nga tulumbibwa bannaffe nokututulugunya nokwagala okutusanyawo awo tugenda kusitukiramu okwelwanako okutaasa eddembe lyaffe elyobutonde okuvva eri Mukama Katonda
Awo nno Nsaba Owekitiibwa Kattikiro nawe oveeyo nenkola yonna mubusoboozi eneyambako okumalawo ebikolwa ebityobola eddembe lyomwana Omuganda
Njagala okwebaaza Olukiiko lwa Buganda Youth Council olwedoboozi nga bayita mukiwandiiko ekyabadde kumutimbagano kilungi naye tekimala twetaaga Sebo Kattikiro nawe okulemberemu Obuganda bwonna tulwanyise omulabe ayagala okusanyawo bazzukulu ba Nambi
Maliliza nga nkwagaliza obulamu obulungi ,Wamu nokubiriza abantu ba Buganda NE bannauganda bonna okuuma emirembe wamu nobumu muffe
Erra Nsaba Owekitiibwa Kattikiro olope ensonga yange eri Ssabasajja Kabaka wa Buganda
Nsigadde nze Omulongo Wasswa Ssemanda Ibra
Muzzukulu wa Katongole Emulema Buddu nzalibwa ba Mussu atte ndi Munnankobazambogo
Ayii Katonda Kuuma Kabaka Wange’